Poliisi ekutte abaana 20 abateeberezebwa okwenyigira mu kutigomya abantu nga batwala ebintu byabwe.

Abakwattiddwa, baatandikawo akabinja “Dog Tulumbe” era babadde batigomya abatuuze b’e Nansana n’ebitundu bya Kampala eby’enjawulo.

Mu kikwekweeto ekyakoleddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, abaana bagiddwa Namungoona, Lubigi ne Monisipaali y’e Nansana nga bali wakati w’emyaka 9 ne 16.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abaana abakwatiddwa babadde beegumbulidde omuze gw’okunyakula ensawo z’abakazi, okutwala amassimu, okumenya amayumba ne batwala ebintu era okukwatibwa kuwadde abatuuze essanyu.

Mu kibuga Kampala mubaddemu obubinja obw’enjawulo omuli Bad Life, B13, XOI, Kasolo Boys, Happy Street, Naguru Arrow Boys n’obulala kyokka bwonna Poliisi esobodde okubulwanisa.