Ekitongole ekirwanyisa abazigu b’emmundu ekya Flying Squad kikutte Dereeva abadde atambuza abantu abenyigira mu kubba mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Dereeva akwattiddwa, kigambibwa yatambuza ababbi okuli Stanley Muluta amanyikiddwa nga Frank Jjumba, Emma Onen Ochan ssaako ne Denis Muguso mu disitulikiti y’e Masaka okubba emmotoka ekika Toyota Harrier namba UBA 874W nga 4, May, 2019.

Dereeva y’omu, yalabwako ng’atambuza ababbi e Nateete Church zone nga 14, May, 2019 ne batta omuyizi ku yunivasite e Nkozi Rafael Walugembe n’okubba owa Mobile Money.

Nga wayise ennaku satu (3), dereeva y’omu yavuga emmotoka ekika Toyota Wish namba UBE 481A mu bitundu bye Kitende ku luguudo lwe Ntebbe okubba obukadde 16 ku mukyala Sanyu Nalukwago.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, dereeva yakwattiddwa oluvanyuma lwa Poliisi okukwata mikwano gye Stanley Muluta, Emma Onen Ochan ssaako ne Denis Muguso.

Enanga agamba nti dereeva amannya gasirikiddwa kuba kiyinza okutaataganya okunoonyereza kwabwe kyokka essaawa yonna wakutwalibwa mu kkooti ne banne ku misango egy’enjawulo omuli obubbi.