Kyaddaki Paul Mutabazi amanyikiddwa nga Fresh Daddy awadde ezimu ku nsonga lwaki yayingidde ekisaawe ky’okuyimba.
Mu kiseera kino Mutabazi avuganya ne mutabani we Patrick Ssenyonyo (Fresh Kid) era ku ntandikwa y’omwezi gunno ogwa Julayi, yafulumizza oluyimba Mazike.
Mutabazi agamba nti wadde akuliridde mu myaka, alina talenti y’okuyimba nga mutabani we Fresh Kid.
Bw’abadde awayamu n’omusasi waffe, Mutabazi agambye nti yayingidde ekisaawe ky’okuyimba era anoonya ebintu 3 byokka, okukyusa obulamu.
Agamba nti alina okunoonya ssente okwegulira poloti mu Kampala ne Luweero, okuzimbamu ennyumba n’okwegulira emmotoka.
Mungeri y’emu agambye nti talina buzibu bwonna ne MC Kats kyokka alina okukimanya nti asobola okuyimba okuvuganya abayimbi abanene omuli Bebe Cool, Fille, Sheebah n’abalala.
Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde MC Kats yalemesa Mutabazi okuyimba mu bbaala emu mu Kampala era agamba nti bakooye abantu okuzanyira mu kisaawe ky’okuyimba.