Ssenkulu wa 100.2 Galaxy FM Dr Innocent Nahabwe asisinkanyeko Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga mu offiisi ye ku Bulange e Mmengo, bw’abadde amutwalidde ekitabo omulambikiddwa obukodyo obw’enjawulo mu ntambuza y’emirimu n’okusingira ddala bizinensi entono.

Dr Innocent yafulumizza ekitabo “Treating Small Businesses” nga kigendereddwamu okuwa amagezi abantu abalina bizinensi entonotono, okusigala nga bakola.

Katikkiro Mayiga asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book, okusiima omulimu ogukoleddwa Dr Innocent okuwa abantu amagezi ku nsonga za bizinensi era akowodde bannayuganda bonna n’okusingira ddala abavubuka okugula ekitabo ekyo, “Treating Small Businesses” okusobola okwetandikirawo emirimu, “Katikkiro asisikanye Dr Innocent Nahabwe, omusawo w’ebisolo, naye nga kati yatandikawo Galaxy FM, Amnesia Discotheque, ne bizinesi endala. Dr Nahabwe abadde aleetedde Katikkiro ekitabo kye Treating Small Businesses. Katikkiro akubirizza abavubuka bakisome basobole okwetandikirawo emirimo“.