Poliisi ekutte omusajja ku by’okutta muganda we gw’abadde alumirizza okwagala omusajja omulala namutwala mu nnyumba ya nnyabwe okunyumya akaboozi.

Okusinzira ku Poliisi, Ama 19 abadde mutuuze ku kyalo Kiina mu Disitulikiti y’e Kikuube akubiddwa mukulu we okutuusa lw’afudde.

Kigambibwa Ama asangiddwa mu kaboozi n’omusajja omulala atamanyiddwa mannya mu buliri bwa nnyina.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Albertine Julius Hakiza, agambye nti omukwate kigambibwa yayambiddwako mikwano gye okutta omuto we Ama wabula Poliisi etandiise okunoonyereza.

Omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa