Poliisi ewezeza omuwendo gw’abantu bataano (5) abakakwatibwa ku by’okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo mu bitundu bya Kampala n’emirirwano.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Afande Fred Enanga, okukwata Aloysious Tamale 24 ng’oluusi yeeyita Patrick Ssekyewa kyokka ng’asinga kumanyibwa nga Young Mulo (ssi omuyimbi) ne munne John Bosco Mugisha, abalabikira mu katambi nga batta Derrick Mulindwa nga 30, June, 2019 e Kakeeka-Mengo mu Divizoni y’e Rubaga kyongedde okubayamba era bakutte banaabwe basatu (3).
Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru agambye nti abakwate abalala kuliko Ssenyonga Umar, Mubaale Bob amanyikiddwa nga Musoga Ben, ne Andiho Majid amanyikiddwa mu bantu nga Kagame.
Mungeri y’emu agambye nti Aloysius Tamale yabadde akulembera akabondo k’ababbi era essaawa yonna babatwala mu kkooti ku misango gy’okubba n’okutta abantu.
Enanga agamba nti Aloysius ne banne basse abantu abasukka mu 10 ne batwala bodaboda zaabwe mu bitundu bya Kampala n’emirirwano.
Owa bodaboda Mulindwa bamuttira Mmengo mu ntiisa nga June 30, 2019 era ettemu lino lwakwatibwa ku katambi nga Young Mulo omutuga n’oluvannyuma omuvubuka omulala Mugisha amanyiddwa nga mukiga n’amukuba ennyondo ku mutwe emirundi musanvu okutuusa lwe yamumaliriza ne bamutwalako pikipiki ye.