Abatuuze b’e Kawuku mu Town Council y’e Katabi ku luguudo lwa Kampala-Entebbe bakubye omusajja atamanyiddwa ne bamwokya okutuusa lw’afudde era omulambo gwe gufuuse vvu.

Attiddwa, ayingiridde omutuuze Samuel Kizito ku luguudo lwe Nakawuka namukuba akatayimbwa ku mutwe nga busasaana enkya ya leero era abatuuze bawulidde miranga nakwazirana.

Abatuuze bekozeemu omulimu ne bazingiza, era omusajja akwattiddwa n’ebintu ebibbe, amangu ddala asibiddwa emiguwa ne bamuyiira amafuta aga petuloori ne bakoleeza omuliro, era Poliisi okuva e Kisubi ng’ekulembeddwamu Ricard Karugaba wetuukidde ng’afuuse vvu.

Ebisigalira by’omugenzi bitwaliddwa mu ddwaaliro Entebbe okwekebejjebwa ate Kizito akubiddwa akatayimbwa atwaliddwa mu ddwaaliro e Kisubi ng’ali mu mbeera embi.

Abatuuze bagamba nti bakooye ababbi ku kitundu kyabwe, era omusajja oyo okuttibwa, kigenda kuyambako okutiisa abandyagadde okwenyigira mu kubba.