Poliisi ezudde abasuubuzi ababadde bagula bodaboda zonna ezibiddwa Tamale Aloysius amanyikiddwa nga Sekyewa Patrick oba Young Mulo ne banne.

Okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo, Young Mulo abadde akola ne mikwano gye okuli Mugisha John Bosco amanyikiddwa nga Mukiga, Senyonga Umar, Mubale Bob amanyikiddwa nga Musoga Ben ne Bandiho Majidu (Kagame).

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, bodaboda ezibadde zibibwa babadde bazitunda eri abasuubuzi mu bitundu bye Muganzirwaza , Nyanama ne Mutundwe.

Enanga agamba nti aba bodaboda 11 bebattiddwa Young Mulo ne banne mu kubba bodaboda.

Abamu ku battiddwa kuliko Damiano Ssekalaala gwe battira e Makindye okuliraana Makindye Country Resort nga April 24, 2019 ne bamutwalako pikipiki ye nnamba UEW 256G, Geoffrey Nkata baamutta nga June 3, 2019 mu Wasswa Zooni e Makindye, Emmanuel Gatete yattibwa March 13, 2019 baamuttira kumpi ne Klezia ya St. Agnes e Makindye, Abdul Nsubuga baamutta January 21, 2019 e Makindye mu Kizungu Zooni, Tom Wamala baamutta June 2, 2019 ate nga waliwo n’omulala ataalina biwandiiko gwe batta nga May 29, 2019 mu Kkanisa Zooni e Makindye.

Abalala mwe muli Derrick Mulindwa, e Kakyeka Mengo e Rubaga nga kkamera zibalaba.