Omusomesa eyakwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, asindikiddwa ku limanda mu kkomera Luzira ku musango gw’okujjula ebitanajja

Walugembe Jimmy, myaka 29 ng’abadde asomesa ku Springfield International School e Kibiri mu disitulikiti y’e Wakiso, yeyakwatiddwa Poliisi ku by’okudda ku mwana omuto myaka 8 namusobyako ng’asinzira mu kabuyonjo y’esomero.

Omwana yakebeddwa mu ddwaaliro ng’omusomesa yamuyuzizza ebitundu by’ekyama era Poliisi yakutte omusomesa Walugembe ssaako n’omukulu w’essomero Mutebi Moses olw’okulemwa okuteeza ku Poliisi ku muyizi we eyakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, omusomesa Walugembe yasindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Luzira ku misango gy’okusobya ku mwana omuto ate omukulu w’esomero, yayimbuddwa kakalu ka Poliisi era omulimu gwabwe ogw’okunoonyereza gukyagenda mu maasomu maaso.