Kyaddaki abakwattiddwa ku by’okutta aba bodaboda mu bitundu bya Kampala n’emirirwano boogedde nti akabinja kabwe kabadde kaakatta aba bodaboda 11.

Abakwattiddwa kuliko Tamale Aloysius amanyikiddwa nga Sekyewa Patrick oba young Mulo, Senyonga Umar, Mubale Bob amanyikiddwa nga Musoga Ben, Bandiho Majidu (Kagame) ne Mugisha John Bosco amanyikiddwa nga Mukiga ku by’okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Aloysius ne banne babadde baakatta aba bodaboda 6 e Makindye ate mu Divizino y’e Lubaga 5.

Enanga agamba nti abamu ku battiddwa kuliko Damiano Ssekalaala gwe battira e Makindye okuliraana Makindye Country Resort nga April 24, 2019 ne bamutwalako pikipiki ye nnamba UEW 256G, Geoffrey Nkata baamutta nga June 3, 2019 mu Wasswa Zooni e Makindye, Emmanuel Gatete yattibwa March 13, 2019 baamuttira kumpi ne Klezia ya St. Agnes e Makindye, Abdul Nsubuga baamutta January 21, 2019 e Makindye mu Kizungu Zooni, Tom Wamala baamutta June 2, 2019 ate nga waliwo n’omulala ataalina biwandiiko gwe batta nga May 29, 2019 mu Kkanisa Zooni e Makindye.

Mu Lubaga, poliisi egamba nti ku lunnaku kwe battira owa bodaboda Derrick Mulindwa e Kakyeka Mengo e Rubaga nga kkamera zibalaba, battirako abantu abalala babiri nga baasooka kutta Wilson Aheebwa gwe baapangisa okuva ssundiro ly’amafuta erya Hass mu Kisenyi ne bamuttira e Bukesa mu kiro 30, June, 2019.