Ekitongole kya Poliisi ekirwanyiza abazigu b’emmundu ekya Flying Squad kikutte omusajja omulala agambibwa okulemberamu okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo mu bendobendo ly’e Masaka.

Dan Mukasa nga mutuuze ku kyalo Lukanga e Najjanankumbi yakwattiddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Mukasa abadde abba bodaboda mu bitundu eby’enjawulo omuli Maddu, Kifamba, Buyinja – Butooro, Kyambalo, Kawuula, Butambala, Mpigi ne Kanoni.

Mungeri y’emu Onyango agamba nti bodaboda zabadde abba, abadde azitunda basuubuzi b’omu Kampala nga bazitema sipeeya.

Kigambibwa nti Mukasa era abadde abba bodaboda mu bitundu omuli Makindye, Najjanankumbi, Namasuba, n’ebitundu ebiriraanyewo nazitunda mu bitundu bye Mpigi, Butambala ne Gomba.

Wadde yakwattiddwa Poliisi, okunoonyereza kukyagenda mu maaso.