Bya Nalule Aminah
Poliisi ekoze ekikwekweeto mu Kampala n’emirirwano okukwata abantu abeegumbulidde okutigomya abasuubuzi mu Kampala.

Mu Kampala, ekikwekweeto kikoleddwa ku Goodshade, Clock tower, Cooper Complex n’ebitundu ebirala era abakwate basangiddwa n’ebintu eby’enjawulo omuli amassimu, enjaga, ensawo z’abakyala, amasaawa era abantu 16 bebakwattiddwa era bakuumibwa mu kaduukulu ka poliisi ku kitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS).

Ate mu bitundu omuli Mutungo, Kitintale, Mbuya, abantu 26 bakwattiddwa ku misango gy’obubbi mu kikwekweeto kya Poliisi.
Omugate, abakwate bali 42 era Poliisi etandiise okusunsulamu okuggyamu abanaatwalibwa mu kkooti okuvunaanibwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, ebikwekweeto bigendereddwamu okukwata abantu bonna abalemesa abasuubuzi okweyagala mu kutambuza emirimu gyabwe.