Poliisi y’e Kisoro etandiise okunoonyereza ku bazigu b’emmundu abasudde emisanvu mu kkubo ne banyaga abatuuze ssenta ku mudumu gw’emmundu nga bali mu katawuni k’e Mbongera ku kyalo Bugara mu ggombolola y’e Nyakabande mu disitulikiti y’e Kisoro.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, ababiddwa kuliko Maniriho Silver myaka 26 nga mutuuze ku kyalo ekyo, nga mukozi mu bbaala, yabiddwako emitwalo 450,000shs ate omuwala Mutuyimana Phionah myaka 17 nga naye mukozi mu bbaala ku kyalo kye kimu, yabiddwako emitwalo 170,000shs.
Maate agamba nti ababbi basudde emisanvu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro nga bali babiri (2) nga bakutte emmundu ekika kya AK47 era baakubye amasasi ana (4) mu bbanga, okutiisa abatuuze.
Poliisi esobodde okwekebejja ekifo, era bazudde ebisosonkole by’amasasi bibiri era Poliisi atandiise okunoonyereza.