Omuyimbi Diamond Platnumz alaze nti mu East Africa, Jose Chameleone y’omu ku bayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.

Diamond agamba nti Uganda erina talenti y’okuyimba era alina essanyu nti bannayuganda balemeddeko okutunda eggwanga lyabwe nga bayita mu kuyimba.

Mungeri y’emu agambye nti ekimu ku ekirooto kye, kwekufuna omukisa okukola kolabo ne Chameleone kuba mu East Africa y’omu ku bayimbi abalina talenti.

Diamond bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku Mestil Hotel, agambye nti mu East Africa, omuntu yenna okwogera ku bayimbi, Chameleone alina okuba ku lukalala kuba akoze buli kimu omuli okuyimba obulungi n’okutumbula talenti mu baana abato.

Diamond yatuuse mu Uganda olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu ku ssaawa 7 mu nnyonyi ya RwandaAir Airlines era olunnaku olwaleero alina ekivvulu ku Uma Show e Lugogo.