Kkooti enkulu e Luweero esalidde omusajja okusibwa emyaka 28 ku misango gy’okutta eyali muganzi we mu nnyumba gye baali bapangisa ku kyalo Ssekamuli mu ggombolola y’e Bamunanika mu Disitulikiti y’e Luweero.
Lawrence Owino myaka 22 yasibiddwa emyaka 28 lwa kutta muganzi we Justine Mukashenjere.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, Owino yatta muganzi we nga 17, November, 2016, omulambo gwe n’agusibira mu nnyumba.
Oluvanyuma lw’okutta muganzi we, yategeeza baneyiba nti kabite we awumuddemu era kigambibwa yalina ekigendererwa eky’okumuziika mu nnyumba.
Alipoota y’abasawo okuva ku ddwaaliro ekkulu e Luweero, yakkatirizza nti omugenzi yali amenyeddwa ensingo n’omukono ogwa ddyo era kiteeberezebwa nti okumutta waliwo okulwanagana.
Omulamuzi Vincent Tonny Okwongo bw’abadde awa ensala ye agambye nti akiriziganyizza n’oludda oluwaabi ssaako n’abawadde kkooti amagezi nti Owino okutta muganzi we yakikola mu bugenderevu era y’emu ku nsonga lwaki yali agezaako okweka obujulizi okutuusa ‘landlord’ we bwe yamwekengera naatemya ku poliisi.
Omulamuzi era agambye nti kyakyewunyo omusajja okutta muganzi we mu kiseera nga bali mu laavu, kwekutegeeza nti amusibye emyaka 28 okuyambako okendezza obutabanguko maka obusukkiridde mu disitulikiti y’e Luweero n’okusomesa abalina ekigendererwa eky’okutta baganzi baabwe.