Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Nyaruhanga mu ggombolola y’e Buhara mu disitulikiti y’e Kabale, omuliro gwokezza abaana basatu (3) mu nnyumba.
Abaana abafudde kuliko Linet Nuwahereza myaka 8, Bright Kanyesigye myaka 6 ne Bridget Nsimire myaka 4.
Okusinzira ku batuuze, nnyabwe Allen Orikyiriza yabadde agenze kuziika ate kitaabwe ali mu Kampala anoonya ssente.
Maama Orikyiriza agamba nti yakomyewo akawungeezi era yabadde asuubira nti abaana bonna bakyali ku ssomero kyokka oluvanyuma kyamubuseeko baneyiba okwetegereza enju ng’abaana beesibiddemu ate nga bonna bayidde.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate agamba nti abaana bonna bafuuse bisiriiza kyokka Poliisi atandiise okunoonyereza engeri gye battiddwamu.
Mungeri y’emu agambye nti singa kizuulibwa nti wabaddewo obulagajjavu, maama Orikyiriza wakukwatibwa avunaanibwe emisango egy’enjawulo.