Omuyimbi Young Mulo asabye bannayuganda okumuyamba kuba waliwo ekigendererwa eky’okusanyawo erinnya lye.

Sabiti ewedde Poliisi yakwata obubbi wa bodaboda Tamale Aloysius amanyikiddwa nga Sekyewa Patrick oba Young Mulo  ku by’okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo.

Okuva sabiti ewedde, bangi ku bannayuganda basoosowaza nnyo erinnya lwa Young Mulo ku babbi abakwatibwa.

Wabula omuyimbi Young Mulo agamba nti bannayuganda okukozesa erinnya ‘Young Mulo’ mu by’okubba bodaboda, waliwo ekigendererwa eky’okusanyawo talenti ye nga bayita mu kusiiga enziro erinnya lye.

Mungeri y’emu asabye bannayuganda, okumuyamba okulongosa erinnya lye kuba alikoze emyaka egisukka mu 10 okusinga okulitta mu sabiti emu yokka.