Erias Tumusingize myaka 42 nga yakulira essomero lya Little Angel primary school mu katawuni k’e Bubare mu ggombolola y’e Bubare mu Disitulikiti y’e Rubanda yakwattiddwa ku by’okudda ku muyizi we atemera mu gy’obukulu 14 abadde asoma ekibiina eky’omukaaga (P6) namusobyako.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omukulu w’essomero yayise omuyizi we ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, namutwala wansi w’omuti mu kompawundi y’essomero, namukozesa lawundi ez’enjawulo.
Maate agamba nti omwana, yavuddeyo ng’ali maziga, kwekutegeeza ku bayizi banne, abamuwadde amagezi okutolola asobole okutegeeza ku bazadde be.
Enkya ya leero, Poliisi etegezeddwako era omukulu w’essomero Tumusingize akwattiddwa ku misango gy’okujjula ebitanajja.