Abasajja babiri (2) battiddwa, bakubiddwa abatuuze lwa kubba bodaboda ku kyalo Kabatanagi Cell mu ggombolola y’e Kazo mu disitulikiti y’e Kazo era Poliisi wetuukidde mu kifo, nga zembuyaga ezikunta.

Abattiddwa bali wakati w’emyaka 25 – 30 lwa kubba bodaboda okuva ku mutuuze ku kyalo Kazo cattle market akawungeezi k’olunnaku olwokusatu.

Oluvanyuma lw’okubba, aba bodaboda bategezeddwako, kwekutandika okubagoba era kwekusuula Pikipiki ku kyalo Nabishekye ne basalawo okuyingira ffaamu y’omugagga John Kinyabashaija.

Aba bodaboda babazingiza era buli omu obwedda abakuba kyakutte mu ngalo omuli amayinja, emiggo okutuusa bonna lwe bafudde.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, Samson Kasasira agambye nti abattiddwa, tebasangiddwamu kiwandiiko kyonna nga ne bodaboda eyabadde ebiddwa UEJ 378C ezuuliddwa.

Mungeri y’emu avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo kuba okutta ababbi, kiremesa Poliisi okunoonyereza n’okuzuula abasuubuzi abazigula nga zibiddwa.

Bbo abatuuze bagamba nti bakooye ababbi abatwala bodaboda zaabwe n’okubatta era nabo, balina okubeekolerako.