Eyaliko Ssenkagale wa Forum for Democratic Change(FDC) Dr. Kizza Besigye yekokodde embeera ey’obwavu eri mu ggwanga nga buli lukya bwongera okusekenya bannayuganda n’okusingira ddala mu masoso g’ebyalo.
Dr. Besigye abadde mu lukungana lw’ekisinde ki People’s Government olusokedde ddala mu makaage e Kasangati mwasinzidde naddamu okulabula eggwanga lya China ku nsimbi zeripokera Uganda kyokka nga zakwewola.
Mungeri y’emu Besigye avumiridde ku buli bw’enguzi obusukkiridde mu ggwanga, ekibba ttaka, okutyoboola eddembe ly’obuntu ebigenda mu maaso mu ggwanga.
Ku nsonga y’obutemu bw’emmundu obweyongedde mu ggwanga, Besigye agamba nti kivudde ku mbeera embi mu bitongole ebikuuma ddembe omuli Poliisi n’abantu mu ggwanga okweyongera okufuna emmundu.