Diamond Platnumz abadde mu kivvulu kya Comedy Store e Lugogo ku kisaawe kya UMA, ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero ku Lwokutaano.
Ku siteegi, asobodde okuyimba ennyimba ze ezisinga obungi era abadigize bavuddeyo nga bamatidde nti Diamond ategeera kye bayita omuziki.
Wakati mu kuyimba, byanabiwala ebyamyuka obwedda birinya ku siteegi okwenoonyeza akatale kuba mu kiseera kino Diamond talina mukyala yenna mu Uganda oluvanyuma lw’okwawukana ne Zari Hassan.




