Omuyimbi Diamond Platnumz ayogedde amazima ku by’okuddamu okufuna omukyala omulala mu Uganda.
Mu Uganda, Diamond yazaala abaana babiri (2) mu Munnayuganda Zari Hassan kyokka oluvanyuma bayawukana olw’obutakaanya mu mukwano gwabwe.
Mu kiseera kino, Diamond yafuna omukyala omulala Munnakenya Tanasha Donna Oketch era ali lubuto.
Wabula bw’abadde eyogerako eri bannamawulire mu Kampala nga yetegekera ekivvulu ku comedy Store ku UMA Showgrounds Lugogo, Diamond agambye nti okuzaala abaana mu Zari gw’ali mukisa okuva eri Omutonzi. Mungeri y’emu agambye nti talina ntekateeka yonna kuddamu kufuna mukyala Munnayuganda kuba tayagala kuwakula ntalo era agezaako nnyo okuba omusajja omulungi mu bantu, “Children in our relationship with Zari is a blessing because everything comes from God, but talking about having other girlfriends here, l don’t think it’s allowed and l don’t want to bring a lot of trouble because am trying to be a good man“.