Kkooti esookerwako mu Kampala, eyongezayo Omusango gwa Andrew Mukasa amanyidwa nga Bajjo events okutuusa nga 4 August, 2019 Oluvunyuma lw’omulamuzi sako n’omuwaabi wa gavumenti obutabaawo.
Bajjo munnakisinde kya ‘People Power’ ali ku misango ebiri okuli: ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwogera ebigambo ebigendereddwaamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni (offensive communication).
Nga 11, July, 2019, Bajjo yayimbulwa kakalu ka kkooti ka Bukadde 4 ate abaamweyimirira okuli Abby Musinguzi (Abitex), Moses Bigirwa ne Matovu Junior obukadde 20 buli omu ezitali za buliwo.
Okusinzira ku ludda oluwaabi kigambibwa Bajjo yakuma omuliro mu bantu mu bitundu bya Kampala, Masaka ne Mbarara ng’ayita mu katambi ke yateeka ku ‘social media’.
Bajjo yakwatibwa nga June 15, 2019 okuva ku bbaala ya Mix Louge ku Centenary Park bwe baali mu lukung’aana lwa bannamawulire ne Abtex.
Ate mu kiseera kyekimu Abbey Musinguzi oba Abtex atutte mu kkooti John Kabanda olw’okumutyobola n’okumwonoonera erinnya nti muyaye ate nga yali yamusasula ssente zeyali amubanja.