Poliisi y’e Jinja ezudde emmundu ey’okubiri, egambibwa okweyambisibwa ababbi, abalumba Kenya Commercial Bank (KCB) akawungeezi k’olunnaku olwokusatu ne bateeka abakozi ku mudumu gw’emmundu nga bagala kutwala ssente.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, Diana Nandawula, emmundu ey’okubiri esaangiddwa nga yasuuliddwa ku kyalo works zone mu kibuga kye Jinja.

Nandawula era agambye nti ababbi abalumbye bbanka babadde bakozi mu kitongole ky’obwananyini ekikuumi pinnacle Security Company okwabadde Willy Namutondo ne Bernard Otikoi kyokka omuntu owokusatu eyabadde n’ababbi tamanyikiddwa.

Mungeri y’emu agambye nti ku Lwokusatu, ababbi webaali badduuka basuula emmundu emu eyalimu amasasi 5 era mu kiseera kino bakwataganyeeko ne Kampuni ya pinnacle okunoonya abakuumi, gye baduukidde bakwatibwe.