Bwiino ayongedde okuvaayo lwaki Zari Hassan yafunye obutakaanya ne Anita Fabiola ku mukolo gw’okunoonya Nnalulungi wa Uganda 2019/20 ku Sheraton Hotel ekkirom ky’olunnaku olw’okutaano.
Omukolo gw’abadde gutambudde bulungi okutuusa Zari omu ku basazi b’empaka bwe yalinye ku siteegi okulangirira omuwanguzi.

Mu mbeera y’okwagala okulya esswaga, yayise Fabiola eyabadde MC w’omukolo amukwatire empapula ng’asoma omuwanguzi. Kino Fabiola yakirabyenga okumuyisaamu amaaso n’okumulengezza n’abigaana ekyaddiridde kuwanyisiganya bisongovu era abategesi baalabye Zari abamalira ebiseera ne babiyingiramu.
Okusinzira ku mikwano gya Fabiola abaaganye okwatuukiriza amannya gaabwe, Zari ne Fabiola bonna bezalawa.
Mungeri y’emu bagambye nti Fabiola mukwano gwa Hamisa Mobetto eyali muggya wa Zari mu kiseera ng’ali mu ddya ewa Diamond Platnumz, ekiraga nti beerinako akakuku.
Bagamba nti Fabiola ne Zari baludde nga balina obutakwatagana era buli omu azalawa munne.