Poliisi ekutte abasuubuzi abagambibwa okugula n’okutunda pikipiki ezibbibwa ku ba bodaboda mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu Kampala n’emirirwano.

Abakwattiddwa ye Stephen Oyimba omutuuze w’e Namumira mu Munisipaali y’e Mukono ne Ronald Mugalula era mu kiseera kino bakuumibwa ku kitebe kya poliisi ekikessi ekya ISO.

Ate omusuubuzi we Katwe tannakwatibwa era Poliisi egaanye okwatuukiriza amannya ge.

Pikipiki ze baasanze mu maka ga Oyimba (Ekifaananyi kya Bukedde)
Pikipiki ze baasanze mu maka ga Oyimba (Ekifaananyi kya Bukedde)

Poliisi egamba nti oluvanyuma lw’okukwata Young Mulo ne John Bosco Mugisha ku by’okubba pikipiki n’okutta bannanyinizo, kisobodde okubanguyiza okukwata abasuubuzi bonna.

Young Mulo ne Mugisha era balumiriza nti pikipiki gye baanyaga ku Derrick Mulindwa gwe battira e Kakeeka – Mengo mu Divizoni y’e Rubaga, omusuubuzi w’e Katwe ye yagibatuma ne bakkaanya abasasule 1,000,000/- kyokka yabawaako 200,000/- zokka.

Akulira ekitongole kya ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso okukwata abantu bonna abagula pikipiki enzibe.