Bya Nalule Aminah

Poliisi ezudde emirambo gy’abatuuze babiri aba bodaboda mu nsiko, ekitiisizza abatuuze ku Kijjamanyi mu Monisipaali y’e Kasese.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga aba bodaboda abattiddwa kuliko Tumusime Francis myaka 20 yafumitiddwa ekiso era Pikipiki ye ekika kya Bajaj namba UEV 939Y yatwaliddwa.

Mu kifo kye kimu, Poliisi omulambo omulala ogwa Kyoya Ronald nga naye yafumitibwa ekiso.

Enanga agamba nti ekiso kizuuliddwa era Poliisi etandiise okunoonyereza.

Ate e Butambala, Poliisi ezudde omulambo gwa Ssenzira John Alex nga yatugibwa butugibwa okutuusa lwe yafa.