Poliisi y’e Rukiga etandiise okunoonyereza engeri omuvubuka myaka 15 gy’akubiddwa amasannyalaze agamutiddewo.

Afudde ye Reuben Turyasingura abadde omutuuze ku kyalo Rugongo cell mu ggombolola y’e Kamwezi mu disitulikiti y’e Rukiga.

Amasannyalaze gamukubidde ku kyalo Rwabahaze cell mu town council y’e Muhanga ward mu kkubo era yalinye ku waaya eyagudde okuva ku kikondo.

Omugenzi abadde mukozi mu maka g’omugagga Birungi mu town council y’e Muhanga.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, Elly Maate Poliisi esobodde okwekebejja omulambo era guwereddwa ab’enganda n’ab’emikwano okutekateeka okuziika.

Omusango guguddwawo ku Poliisi y’omu kitundu ku fayiro namba SD ref 12/29/07/19.