Zari Hassan y’omu ku bakyala mu Uganda ne East Africa aboogerwako nti bategeera bulungi okulya obulamu ate abalina emikisa ne ssente.
Zari mu bulamu bwe, abadde ayagala basajja bagagga bokka omuli omugenzi Ivan Ssemwanga, omuyimbi Diamond Platnumz n’abalala kyokka mu kiseera kino alina omusajja omulala amanyikiddwa nga King Bae.

Wabula agava mu ggwanga erya South Africa, galaga nti Zari bamugulidde amaka amalala era essaawa yonna agenda kufuna ekyapa mu mannya ge mu bbanga lye myezi 4-6.
Kigambibwa Zari ne King Bae omukwano gwabwe gukyali waggulu nnyo ate omusajja mbu alina ssente era y’omu ku basuubuzi abatutumufu mu ggwanga erya South Africa era mbu y’emu ku nsonga lwaki amugulidde amaka.