Poliisi y’e Mityana eri kunoonya omusajja eyasobezza ku mwana omuto ow’emyaka 10 bwe yabadde agenze emugga okukima amazzi akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande ku kyalo Kizigo mu ggombolola y’e Kikandwa mu disitulikiti y’e Mityana.
Omwana yayisiddwa bubi nnyo era abasawo ku ddwaaliro e Mityana bamulemeredde era asindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago mu Kampala ng’ali mu mbeera mbi.
Okusinzira ku bazadde nga bakulembeddwamu taata w’omwana Matiya Kyambadde, omwana ebyenda byavuddeyo birengejja mu bukyala bwe ate yenna bamuyuzizza ebitundu by’ekyama.
Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Nobert Ochom asabye abatuuze abalina amawulire okuvaayo okugawa Poliisi kiyambeko mu kunoonyereza kaabwe.