Ssemaka asindikiddwa mu kkomera okumala emyaka 30 lwa kusobya ku baana babiri beyezaalira.
Abud Nyenje myaka 39 nga mutuuze ku kizinga kye Lwabaswa mu Disitulikiti y’e Kalangala, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Winfred Nabisinde era akiriza okusobya ku baana be okuli ow’emyaka 9 ne 14.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Nkasa lutegezezza omulamuzi Nabisinde nti ssemaka Nyenje yakwatibwa abatuuze era bamusanga lubona ng’asobya ku mwana we, ow’e 14.
Mu kkooti, abaana bakiriza nti kitaabwe aludde ng’abasobyako nga yabasuubiza okubatusaako obulabe singa banyumizaako omuntu yenna.
Mungeri y’emu kkooti ekitegeddeko nti Nyenje, yatandiika okusobya ku baana be amangu ddala nga mukyala we anobye mu 2018.
Munnamateeka wa Nyenje, Alexander Lule asabye omulamuzi omuntu we okumuwa ekibonerezo ekisamusaamu kuba akirizza eby’okusobya ku baana be, oludda oluwaabi kye lusimbidde ekkuuli kuba Nyenje, alina okuba eky’okulabirako ku abazadde abalala, abasobya ku baana baabwe.
Omulamuzi mu kuwa ensala ye, agambye nti kkooti erina obuvunaanyizibwa okukuuma abaana n’abakyala ebikolwa eby’okubakulusanya era abantu nga Nyenje balina okugibwa mu bantu kuba wabulabe nnyo eri abaana abawala.
Mungeri y’emu agambye nti kyewuunyisa taata okudda ku baana be babiri okubasobyako eyandibadde abalambika, kwekumusiba emyaka 30.