Ssentebbe w’ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni abikudde ekyama ku butakaanya obuliwo wakati wa Uganda n’eggwanga erya Rwanda.
Museveni agamba nti enteseganya, zatandiise wakati w’amawanga gombi (Uganda ne Rwanda) mu kibuga Luanda mu ggwanga erya Angola ng’ali ne mukulu munne owa Rwanda Paul Kagame, owa Democratic Republic of Congo (DRC) Félix Tshisekedi ne João Lourenço owa Angola.
Kinnajjukirwa nti, Rwanda yaggalawo ensala zaayo okuli Katuna mu February wa 2019, ekyavirako abasuubuzi okufiirwa emmaali yaabwe.
Wabula Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage ku kyalo Makanga hill mu Disitulikiti y’e Kabale ng’akomerekeza okulambula kwe mu bitundu bye Kigezi, yasabye bannayuganda okukuuma obukakamu okuwa omukisa bannayuganda okuteesa ku nsonga eyo.
Eddoboozi lya Museveni mu Rukiga