Abayimbi ab’enjawulo balidde eswagga mu maaso ga Kabaka Ronald Muwenda Muteebi 11 ku matikkira aga 26 agakyagenda mu maaso ku ssetendekero w’e Nkumba e Busiro mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Abamu ku bayimbi kuliko Bobi Wine, Mathias Walukagga, Mesach Semakula, Dr. Hilderman Maureen Nantume, Ronald Mayinja n’abalala era basanyusa omutanda kuba bamuyimbidde oluyimba.






