Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni kyaddaki akirizza bannamaggye abali ku ddaala lya Generali okuwumula.
Ku mukolo ogwabadde mu State House Entebbe, Museveni yasiimye ba Generali bonna okuwerezza eggwanga lyabwe n’okwolesa empisa enungi.

Abawumudde kuliko
Gen Joram Mugume,
Maj Gen Nathan Mugisha
Maj Gen Sam Turyagyenda,
Brig Gen Ramadan Kyamulesire,
Maj Gen Timothy Sabiiti Mutebile,
Brig Gen Charles Angulo Wacha,
Brig Gen Sam Kakuru,
Brig Gen Mathew Ssewankambo;
Maj Gen. Jimmy Wills Byarugaba;
Maj Gen Sam Wasswa Mutesasira;
Brig Gen Gyagenda Kibirango;
Brig GenTom Tumuhairwe;
Maj Gen Ambrose Musinguzi;
Brig Gen Mulondo
Brig Gen John Mulindwa n’abalala.

Wabula kimanyiddwa nti Gen David Sejusa y’omu ku ba Generali abasooka okusaba okuwumula amaggye kyokka tanafuna mukisa ogwo.
Sejusa azze asaba okuva mu magye naye ng’abakwatibwako ku nsonga eno tebamuwa mwagaanya ekyamuviirako n’okwekubira enduulu mu kkooti enkulu.
Ensonda ziraga nti, nga tannaba kuwummuzibwa, Sejusa yali yaweebwa obukwakkulizo bwe yalina okutuukiriza olwo akakiiko k’amagye akakola ku by’okumuwummuza kalyoke kamuwe empapula mu butongole.

Kigambibwa nti mu bumu ku bukwakkulizo obwamuweebwa, mwalimu eky’obutaddamu kwogerera mu nkuhhaana za bya bufuzi ez’engeri yonna, oba okubaako ebigambo by’ayogera nga biyinza okutyoboola ekitiibwa ky’amagye, oba Pulezidenti ng’omuntu.
Ensonda ziraga nti, eno y’ensonga lwaki Sejusa abadde takyawulikika nnyo nga bwe yali, era nga kati abantu abamu babadde batuuse n’okumwebuuza gye yalaga. Kigambibwa nti omuduumizi w’amagye ow’oku ntikko, Gen. Yoweri Museveni yali yalagira dda Sejusa okuwummuzibwa oluvannyuma lw’okumusisinkana mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe, mu January, 2015, kyokka akakiiko akakwatibwako ensonga eno, mu magye aka, ‘Army Commissions and Promotions Board’, kabadde tekateekanga mu nkola kiragiro kino, olw’ensonga nti, kabadde kakyalinze kalabe oba ddala Sejusa agoberera obukwakkulizo obwali bwamuweebwa.