Sheilah Gashumba alaze nti mu nsi, muganzi we Ali Lwanga amanyikiddwa nga Gods Plan ye musajja yekka ali ku mutima gwe.
Sheilah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okuwa obweyamu eri Gods Plan nti wadde ensi erimu okusomozebwa, tewali muntu yenna ayinza kumwawula na bba era amwagala nnyo, “In this crazy world, full of change and chaos, there is one thing of which I am certain, one thing which does not change: my love for you bae“.