Poliisi ku kyalo Matakara mu ggombolola y’e Muko mu Disitulikiti y’e Rubanda ekutte abantu babiri (2) ku by’okutta omukyala Anet Atulinda myaka 30 abadde omutuuze ku kyalo ekyo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, Atulinda baamuttidde mu nimiro bw’abadde agenze okulima era omulambo gulabiddwa bba Akatwijuka Jophas bw’abadde agenze okumukimako oluvanyuma lw’okulinda okumala essaawa eziwera nga takomawo.

Maate agamba nti Poliisi ekutte abantu babiri (2) okuli Augustine Ndyanabangi ne Ayebare Arestus bagiyambeko mu kunoonyereza.

Kiteberezebwa nti obutakaanya ku ttaka y’emu ku nsonga lwaki Atulinda attiddwa era byonna Poliisi etandiise okubinoonyerezaako.