Poliisi mu Kampala ekutte abantu basatu (3) ku by’okubbira ku Mini Price buli lunnaku.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi ku ekitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS, Ivan Nduhura, abakwate bategerekeseko nga Mwanje, Kaweesi ne Umar ku by’okunyaga abasuubuzi kumakya nga bageenda ku mirimu n’akawungeezi nga banyuse.

Nduhura agamba nti abakwate babadde banoonyezebwa Poliisi era mu kiseera kino bali ku CPS mu Kampala ku misango gy’obubbi.

Poliisi egamba nti Mwanje ne Kaweesi ennaku ezimu babadde babbira ku Burton Street ate Umar mu katale k’Owino.

Mwanje ne banne okukwattibwa, kidiridde Poliisi okukwata munaabwe Araphat sabiti ewedde ku by’okubbira mu Kampala era yasangiddwa n’ejjambiya.

Poliisi egamba nti etandiise okunoonyereza ku bavubuka bonna abakwattiddwa.