Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Buhumuliro cell mu ggombolola y’e Nyakishenyi mu Disitulikiti y’e Rubanda, omukyala bw’attiddwa ng’atemeddwa ebiso era omulambo gwe gusangiddwa mu kitaba kya musaayi.

Rosemary Tugumisire myaka 43 yattiddwa, era omulambo gwe gulabiddwa omwana we myaka 5 nga gusangiddwa mu kisenge ku kitanda, amangu ddala kwekuddukira mu baneyiba wakati mu kulukusa maziga.

Abatuuze bekozeemu omulimu, Poliisi neyitibwa era mu mukwekebejja enju, ejjambiya nga yonna ejudde omusaayi ezuuliddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, tewali muntu yenna akwattiddwa mu kiseera kino wabula okunoonyereza kutandikiddewo.

Maate asabye abatuuze abalina amawulire ku by’okutta mutuuze munaabwe, ogawa Poliisi kiyambeko okukwata abatemu kuba kigambibwa okumutta, basoose kumusobyako oluvanyuma ne bamutematema.