Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu asalidde eyali omusomesa ku yunivasite y’e Makerere Dr Stella Nyanzi okusibwa emyezi 18 mu kkomera e Luzira.
Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Dr Nyanzi bamusingisizza ogw’okukozesa obubi kompyuta.
Mu kuwa ensala ye akawungeezi ka leero, Dr Stella Nyanzi, asinzidde mu kkomera e Luzira era omulamuzi Kamasanyu abadde yeyambisa tekinologiya wa Ttiivi okuwuliziganya naye e Luzira.

Dr Nyanzi yekyangidde ku mulamuzi okumulemesa okumuleeta mu kkooti, kwekutandiika okweyambula era amangu ddala omulamuzi Kamasanyu alagidde abasirikale b’e Luzira okumuggya mu kasenge mw’abadde.
Oluvanyuma omulamuzi awadde ensala ye era agambye nti Dr Stella Nyanzi asibiddwa emyezi 18 kyokka basazeeko emyezi mwenda (9) gy’akulungudde ku limanda mu kkomera e Luzira.