Abamu ku bannayuganda batabukidde omuwala Sheilah Gashumba okuswaza kitaawe Frank Gashumba olw’ebigambo bye.
Sabiti ewedde, Sheilah bwe yabadde mu bbaala ya Nomads e Bbunga, yagambye nti ye ne bba Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan balya obulamu buli lunnaku.
Mungeri y’emu yagambye nti God’s Plan akulungudde ebbanga mu ggwanga erya Bungereza mu kibuga London era ategeera ennyo kye bayita okulya obulamu kuba mu Kampala, ye musajja agula omwenge gwe bbeeyi gwokka kuba alina ssente.
Sheilah era agamba nti God’s Plan asukkulumye nnyo ku mugenzi Ivan Ssemwanga mu kusasaanya ssente mu Kampala ate ye musajja ateraga.
Ebigambo bye, bamu ku bannayuganda bagamba nti biswaziza nnyo kitaawe Gashumba, famire yaabwe ssaako naye okweswaza wadde alina ekitiibwa.







