Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu olunnaku olwaleero ku ssaawa 9 ez’akawungeezi lw’agenda okuwa ekibonerezo eyali omusomesa ku yunivasite e Makerere Dr Stella Nyanzi.

Olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, Omulamuzi Kamasanyu yasingisizza Nyanzi omusango gw’okukozesa obubi kompyuta kyokka yejjjeeredde ku musango omulala ogw’okuvvoola omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ne nnyina omugenzi Esteri Kokundeka.

Mu kkooti, Stella Nyanzi yeegayiirira omulamuzi Kamasanyu nti n’omusango gw’okunyiiza Pulezidenti Museveni yandibadde agumusingisa kubanga bulijjo ky’alubirira era yabadde aleekaanira waggulu nnyo.

Okusinzira ku sseemateeka wa Uganda, omusango gwa Nyanzi ekibonerezo kya kusibwa emyaka 3 oba okusasula fayini.

Nyanzi mu kkomera e Luzira abaddeyo okuva nga October 2018, yagaana okumweyimirira yadde kkooti yali emuwadde omukisa gw’okusaba bamukkirize aleete abagenda okumweyimirira.