Poliisi, etandiise okunoonyereza ekyavudde omusajja okwetta, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo.
Tayebwa Ronah myaka 30 abadde mutuuze ku kyalo Nyamabare mu ggombolola y’e Bambara mu Disitulikiti y’e Rukungiri era omulambo gwe gusangiddwa mu nsiko.
Omulambo gulabiddwa ssentebbe w’ekyalo Ikwene David eyatemezza ku abatuuze ssaako ne Poliisi y’omu kitundu.
Amangu ddala Poliisi yasobodde okwekebejja ekifo, era bazuddewo eccupa eyabaddemu obutwa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro erya Rwakabengo Health centre III okwekebejjebwa.
Maate agamba nti tewali muntu yenna akwattiddwa wabula okunoonyereza kwatandikiddewo.