Balaam Baruhagare omutegesi w’ebivvulu ali mu maziga n’okwejjusa, okuteeka ssente ze mu Umar Semata okuzannya ne Moses Golola mu luzannya lwa ‘K1 Kick Boxing’.
Semata abadde mu Yellow corner nga Balaam amutaddemu ssente okukuba Golola owa Red corner abadde ateekebwamu ssente Abby Musinguzi amanyikiddwa nga Abtex.

Mu kiro ekikesezza leero ku Ssande, Golola awutudde Semata enguumi kata emuwogole oluba mu lawundi ey’okusatu ku Freedom City e Namasuba.
Enguumi ya Golola, Balaam asigadde awunze n’okumwerabizza ekibiina kye ekya NRM kuba abadde tasuubira nti omuntu we Semata ayinza okukubwa.