Ssaabalamuzi Bart Katureebe avumiridde ekikolwa ekyabadde mu kkooti akawungeezi k’olunnaku olwokutaano, eky’okukuba omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Gladys Kamasanyu akakyupa k’amazzi ku mutwe.
Omulamuzi Kamasanyu yakubiddwa bwe yabadde yakamala okuwa ekibonerezo eyali omusomesa ku yunivasite y’e Makerere Dr Stella Nyanzi eky’okusibwa emyezi 18 mu kkomera e Luzira lw’okusingisibwa omusango ogw’okukozesa obubi kompyuta.
Ku myezi 18, Dr Stella Nyanzi bamusaliddeko emyezi 9 gy’akulungudde ku limanda era yasigaza emyezi 9.
Wakati mu kusoma ekibonerezo, omu ku bawagizi ba Dr Stella mu kkooti, yakubye omulamuzi Kamasanyu akakyupa k’amazzi ku mutwe era Poliisi yakutte abantu mukaaga (6).
Ssaabalamuzi Katureebe agamba nti eky’okukuba omulamuzi akakyupa kikolwa kya kulumbagana kitongole ekiramuzi, okuyisaamu abalamuzi amaaso n’okulemesa enkola y’amateeka mu ggwanga.
Katureebe asuubizza okukolagana n’ebitongole ebikuuma ddembe, okunyweza ebyokwerinda mu kkooti zonna.