Moses Golola awangudde Umar Semata mu luzannya lwa ‘K1 Kick Boxing’ ku Freedom City e Namasuba mu kiro ekikesezza leero ku Ssande.
Oluzannya lubadde lwa kuddingana oluvanyuma lwa Semata okuwangula omulundi ogwasooka omwaka oguwedde ogwa 2018.
Okulwana kwetabyeko abantu bangi ddala, Gololo akubye Semata enguumi kata emuwogole oluba mu rawundi ey’okusatu (3), nalangirirwa ng’omuwanguzi.