Poliisi egumizza abatuuze okunoonyereza ku by’okutta omusuubuzi Bosco Lutalo atemera mu gy’obukulu 42 abadde omutuuze ku kyalo Kooki Ward C mu town council y’e Lyantonde mu Disitulikiti y’e Lyantonde.

Omulambo gwa Lutalo gusangiddwa mu kitaba ky’omusaayi okumpi n’edduuka lye mu town council y’e Lyantonde nga yafumitiddwa ekintu ekiteberezebwa okuba ekiso oba ekyambe ku mugongo, ekifuba ne mulubuto era yafudde olw’omusaayi omungi ogwamuvuddemu.

Okusinzira kw’adduumira Poliisi mu Disitulikiti y’e Lyantonde Didas Byaruhanga, Poliisi ekutte omukyala muganzi w’omugenzi kuba kiteberezebwa , okwenyigira mu ttemu ly’okutta Lutalo.

Omulambo gutwaliddwa mu kalwaliro aka SR Kanaabi Clinic okwekebejjebwa.