Kyaddaki Poliisi ezudde ekituufu ekyaviriddeko omuyimbi Michael Alinda abadde amanyikiddwa nga Ziggy Wine, okufa ekkiro kya Ssande mu ddwaaliro e Mulago.
Okuva ku Ssande, amawulire gabadde gagamba nti Ziggy yawambibwa abantu abatannamanyika ne bamuggyamu eriiso, okumutemako engalo bbiri ssaako n’okumutusaako ebiwundu oluvannyuma ne bamutwala ne bamusuula ku geeti y’eddwaaliro e Mulago, abazirakisa we baamuggya ne bamuyingiza mu ddwaaliro munda n’afuna ekitanda abasawo ne batandika okumujjanjaba.
Wabula okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ziggy Wine okufa kwe kyavudde ku kabenje keyafuna mu bitundu bye Kyebando nga 21, July, 2019.
Enanga agamba nti Ziggy Wine yali ku pikipiki ekika kya Honda ng’ava e Kyebando okudda e Kalerwe kwekutomera omukyala omusomesa Roy Atworo era abazirakisa be baamutwala mu kalwaliro akali okumpi ng’ali mu mbeera mbi.
Oluvanyuma bamutwala mu ddwaaliro e Nsambya, gye bamuggya okumutwala mu ddwaaliro e Mulago.
Agamba nti okufa kwe temuli byabufuzi wabula kaali kabenje era kiteberezebwa nti eriiso okuvaamu, yafuna obuzibu ku mutwe.
Enanga agamba nti aba famire bolekedde okubaggulako omusango olw’okuwa Poliisi amawulire ag’obulimba era okunoonyereza kutandiise.
Ziggy wakuziikibwa olunnaku olw’enkya ku Lwokusatu mu disitulikiti y’e Mitooma.