Omusajja myaka 30 asibiddwa emyaka 20 lwa kubba ssente shs 7,000.
Dickson Mwebaze nga mutuuze ku kyalo Nakalele mu disitulikiti y’e Sembabule.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 13, July, 2016, Mwebaze ne banne abakyaliira ku nsiko, basuula emisanvu mu luguudo ne babba Godfrey Kwizera shs 7,000 oluvanyuma lw’okumukuba ne bamusuula mu mugga ng’ali bwereere era yazuulibwa abatuuze enkeera ng’ali mu mbeera mbi.
Mu kkooti, Mwebaze akirizza omusango era oludda oluwaabi lusabye omulamuzi okumuwa ekibonerezo ekigwanidde okutangira abantu abalala okwenyigira mu bubbi obuviiriddeko abantu abamu okuttibwa.
Ate munnamateeka wa Mwebaze, Alexander Lule asabye kkooti okuwa omuntu we ekibonerezo ekisamusamu kuba akirizza mu bwangu omusango gwe.
Omulamuzi Winfred Nabisinde agambye nti buvunaanyizibwa bwa kkooti okukuuma abantu, kwekusalawo okusiba Mwebaze emyaka 20 okusobola okukendeza ku bantu abegumbulidde okubbisa eryaanyi.
Ku myaka 20, Mwebaze bamusaliddeko emyaka 3 gyakulungudde ku limanda n’omwaka ogumu okukiriza mu bwangu omusango.