Omuyimbi Moses Ssali amanyikiddwa nga Bebe Cool alabudde bannayuganda okunoonya abantu abalina omulamwa era abasobola okubayamba mu by’enkulakulana.
Omwezi oguwedde, Kigambibwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni yawa Bebe Cool ekirabo ky’emmotoka ekika Toyota Land Cruiser GX V8 2019 okumwebaza okwagala ekibiina kya National Resistance Movement (NRM) n’okumukiririzamu wadde kitaawe Bidandi Ssali yali ku ludda luvuganya.
Wabula Bebe Cool bwe yabadde ku kivvulu kya Nseko Buseko (Madrat ne Chiko) sabiti ewedde ku Lwokutaano, yagambye nti bannayuganda balina okukomya okulowooza nti emmotoka kintu kyabeeyi nnyo kuba naye alina ssente asobola okugyetusaako.
Mungeri y’emu Bebe Cool agamba nti abantu balina okunoonya abantu abalina ku ssente okukyusa obulamu bwabwe okusinga okuddukira eri abantu abaavu abatavaako wadde 100.
“Mulina okukimanya nti Pulezidenti w’eggwanga alina ssente era mulina okukola naye okusobola okuyambibwa, kuba Pulezidenti Museveni ayagaliza bannayuganda bonna era mulina okumwagala mwenna” Bebe Cool ku Pulezidenti Museveni.
Bebe Cool agamba nti bannayuganda balina okwegendereza nga banoonya abantu abasobola okukyusa obulamu bwabwe mu mbeera enungi.