Kyaddaki Omuyimbi Sheebah Kalungi avuddemu omwasi lwaki mu Uganda ye muyimbi omukyala asinga amaanyi mu kiseera kino.
Sheebah bw’abadde ku Ciroc Pop ekkiro ku Guvnor, agambye nti abawagizi be okumwagala ennyo mu mbeera yonna naye okubawa ebirungi obutabaswaza, kimufudde omuyimbi ow’enjawulo ku bayimbi abakyala abalala bonna.
Mungeri y’emu agambye nti alina okukola ennyo okuwa abawagizi be esannyu n’ennyimba enungi kuba bamuwagidde okuviira ddala ku ntandikwa.
Sheebah era agambye nti mu bbanga lye myezi 6, asobodde okutuuka ku bintu bingi nnyo mu bulamu bwe omuli okuyingira ennyumba ye mu bitundu bye Munyonyo, okuyimbira abawagizi be mu ggwanga erya America, Amsterdam, Burundi n’amalala ate asobodde okukola kolabo n’abayimbi ab’enjawulo omuli Rajab Abdul Kahali amanyikiddwa nga Harmonize okuva mu ggwanga erya Tanzania n’abalala.